Jeremiah 17:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Mukama, essuubi lya Yisirayeli, bonna abakwabulira baliswala, abakuvaako baliwandiikibwa mu nfuufu, kubanga balese Omukama, ensulo y'amazzi amalamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Mukama essuubi lya Isirayiri, bonna abakuvaako baliswala. Abo abakuvaako ne bakuleka baliba ng’abawandiikiddwa mu nfuufu, kubanga bavudde ku Mukama, oluzzi olw’amazzi amalamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayi Mukama, essuubi lya Isiraeri, bonna abakuvaako balikwatibwa ensonyi; abakusenguka baliwandiikibwa ku ttaka, kubanga bavudde ku Mukama, oluzzi olw'amazzi amalamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, ggwe ssuubi lya Yisirayeli. Bonna abakuvaako balikwatibwa ensonyi. Amannya g'abo bonna abakusenguka galiwandiikibwa mu nfuufu, kubanga bakuvuddeko ggwe Mukama, oluzzi olw'amazzi amalungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai Mukama, essuubi lya Isiraeri, bonna abakuvaako balikwatibwa ensonyi; abansenguka baliwandiikibwa ku ttaka, kubanga bavudde ku Mukama, oluzzi olw'amazzi amalamu.