Jeremiah 17:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sso nze sikusindiriranga oleete akabi, era seegombanga lunaku lwa kabenje; buli kye njogera kyerufu mu maaso go.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sirekeddaawo kuba musumba wa ndiga zo, omanyi nga sikusabanga kubaleetako nnaku. Byonna ebiva mu kamwa kange tebikukwekeddwa, obimanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nze sikunyigirizangako kuleeta kabi, so sseegombanga lunaku olw'okulabirako ennaku; ggwe omanyi; ekyava mu mimwa gyange kyabanga mu maaso go.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ayi Mukama, sikufukuutiriranga kubatuusaako kabi. Sibaagalizanga kiseera kya kubonaaboneramu. Mukama, ekyo okimanyi. Bye nayogera obimanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nze ku bwange seeyuna obutaba musumba ennyuma wo; so seegombanga olunaku olw'okulabiramu ennaku; ggwe omanyi: ekyava mu mimwa gyange kyabanga mu maaso go.