Jeremiah 17:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abanjigganya baswale, naye nze mponya okuswala; batekemuke, sso nze nneme kutekemuka. Basindikire olunaku olw'akabi; bazikirize, obaddemu n'ogwokubiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo abanjigganya leka baswale, era onkuume nneme kuswala; leka bagwemu ekyekango nze onkuume nneme okwekanga, batuuse ku lunaku olw’ekikangabwa, bazikiririze ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bakwatibwe ensonyi abo abanjigganya, naye nze nneme okukwatibwa ensonyi; bo bakeŋŋentererwe, naye nze nneme okukeŋŋentererwa; baleeteko olunaku olw'okulabiramu obubi, obazikirize n'okuzikirira okw'emirundi ebiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abangigganya be baba bakwatibwa ensonyi, naye si nze. Be baba beeraliikirira, naye si nze. Obatuuseeko akabi, obakutulemu ebitundu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bakwatibwe ensonyi abo abanjigganya, naye nze nneme okukwatibwa ensonyi; bo bakeŋŋentererwe, naye nze nneme okukeŋŋentererwa: baleeteko olunaku olw'okulabiramu obubi, obazikirize okuzikirira okw'emirundi ebiri.