Jeremiah 17:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino kye yaŋŋamba nti: “Genda oyimirire mu Mulyango gw'Abantu, bakabaka ba Yuda mwe bayingirira n'okufulumira, ne mu miryango gyonna egya Yeruzaalemu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati Mukama bwe yaŋŋamba nti, “Genda oyimirire ku mulyango gw’abantu, bakabaka ba Yuda mwe bayingirira n’okufuluma; yimirira ne ku nzigi endala eza Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati Mukama bwe yaŋŋamba nti, “Yeremiya genda oyimirire mu Mulyango ogwa Benyamini, bakabaka ba Yuda mwe bayingirira era mwe bafulumira, okole bw'otyo ne mu miryango gyonna egy'e Yerusaalemi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'aŋŋamba nti: “Yeremiya, genda olangirire obubaka bwange ku Mulyango gw'Abantu, bakabaka ba Buyudaaya gwe bayitamu okuyingira n'okufuluma ekibuga. Era okole bw'otyo ne ku miryango emirala gyonna egya Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati Mukama bwe yaŋŋamba nti Genda oyimirire mu mulyango ogw'abaana b'abantu, bakabaka ba Yuda mwe bayingirira era mwe bafulumira ne mu miryango gyonna egy'e Yerusaalemi;