Jeremiah 17:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ogambe nti: ‘Muwulire ekigambo ky'Omukama, mmwe bakabaka ba Yuda, mmwe abantu ba Yuda na mwenna abasula mu Yeruzaalemu, abayita mu miryango gino:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bagambe nti, ‘Muwulirize ekigambo kya Mukama mmwe bakabaka ba Yuda n’abantu bonna ababeera mu Yerusaalemi, abayita mu miryango gy’ekibuga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
obagambe nti, ‘Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe bakabaka ba Yuda, ne Yuda yenna ne bonna abali mu Yerusaalemi, abayingirira mu miryango gino.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tegeeza bakabaka n'abantu bonna ab'omu Yerusaalemu abayingirira mu miryango gino, bawulire kye ŋŋamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
obagambe nti Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe bakabaka ba Yuda, ne Yuda yenna ne bonna abali mu Yerusaalemi, abayingirira mu miryango gino: