Jeremiah 17:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba: “Mwekuume obuteetikkanga bizito ku lunaku lwa Sabbaato, yadde okubiyingiza nga mubiyisa mu miryango gya Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Weegendereze oleme kufulumya mugugu gwonna mu nnyumba yo wadde okukola omulimu gwonna ku ssabbiiti, naye mukuume olunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu nga temulukolerako mulimu gwonna,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Mwekuume olw'obulamu bwammwe, muleme okusituliranga omugugu gwonna ku lunaku lwa Ssabbiiti, so temuguyingirizanga mu miryango egy'e Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bategeeze nti oba nga baagala obulamu bwabwe, beekuume, baleme kusitula migugu ku Sabbaato, era baleme kugiyisanga mu miryango gya Yerusaalemu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bw'ati bw'ayogera Mukama nti Mwekuume muleme okusituliranga ku lunaku lwa ssabbiiti omugugu gwonna, so temuguyingirizanga mu miryango egy'e Yerusaalemi;