Jeremiah 17:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Temufulumyanga bizito mu nnyumba zammwe ku lunaku lwa Sabbaato, oba okukolerako omulimu n'ogumu, wabula mukuume Sabbaato nga ntukuvu, nga bwe nalagira bajjajjammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era kuuma olunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu nga bwe nalagira bajjajjammwe.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era temwetikkanga mugugu gwonna okugufulumya mu nnyumba zammwe ku lunaku olwa Ssabbiiti, so temukolanga mulimu gwonna, naye mutukuzanga olunaku olwa Ssabbiiti nga bwe nnalagira bajjajjammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
wadde okufulumyanga omugugu mu nnyumba zaabwe ku Sabbaato. Balemenga kukola mirimu ku Sabbaato. Naye batukuzenga olunaku lwa Sabbaato, nga bwe nalagira bajjajjaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
so temuggyanga mugugu mu nnyumba zammwe ku lunaku olwa ssabbiiti, so temukolanga mulimu gwonna: naye mutukuzanga olunaku olwa ssabbiiti nga bwe nnalagira bajjajjammwe;