Jeremiah 17:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bo tebaawulira; tebassaayo mwoyo; baakakanyaza ensingo zaabwe, tebaawulira yadde okukkiriza ebyabalagirwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye tebaawuliriza wadde okukkiriza okunenyezebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ne batawulira so tebaatega kutu kwabwe, naye ne bakakanyaza ensingo yaabwe baleme okuwulira era baleme okukkiriza okuyigirizibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bajjajjaabwe tebaawulira era tebaafaayo, naye baakakanyaza emitima gyabwe, ne bagaana okumpulira n'okukwata bye mbayigiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye ne batawulira so tebaatega kutu kwabwe, naye ne bakakanyaza ensingo yaabwe baleme okuwulira era baleme okukkiriza okuyigirizibwa.