Jeremiah 17:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bwe munaafaayo okumpulira,” Omukama y'agamba, “ne mutayingiza kintu kyonna nga mukiyisa mu miryango gy'ekibuga kino ku lunaku lwa Sabbaato, ne mutukuza olunaku lwa Sabbaato, ne mutalukolerako mulimu na gumu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka bwe muneegendereza ne muŋŋondera, bw’ayogera Mukama, ‘ne mutayisa kintu kyonna kye mwetisse mu miryango gy’ekibuga ku ssabbiiti, naye ne mukuuma olwa Ssabbiiti nga lutukuvu obutakolerako mulimu gwonna,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“ Awo olulituuka, bwe munaanyiikiranga okumpulira, bw'ayogera Mukama, ne mutaleeta mugugu gwonna okuguyisa mu miryango gy'ekibuga kino ku lunaku olwa Ssabbiiti, naye bwe munaatukuzanga olunaku olwa Ssabbiiti obutalukolerangako mulimu gwonna;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tegeeza abantu bano nti bateekwa okuwulira ebiragiro byange byonna. Balemenga kwetikka migugu, kugiyisa mu miryango gya kibuga. Bateekwa okutukuzanga olunaku lwa Sabbaato, n'obutalukolerangako mirimu n'akatono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka, bwe munaanyiikiranga okumpulira, bw'ayogera Mukama, obutaleetanga mugugu gwonna okuguyisa mu miryango gy'ekibuga kino ku lunaku olwa ssabbiiti, naye bwe munaatukuzanga olunaku olwa ssabbiiti obutalukolerangako mulimu gwonna;