Jeremiah 17:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
olwo bakabaka abatudde ku nnamulondo ya Dawudi n'abakungu baliyingira mu miryango gy'ekibuga kino nga beebagadde ku bigaali n'embalaasi, bo, abakungu baabwe, abantu ba Yuda n'abasula mu Yeruzaalemu; era ekibuga kino kirisengwamu nate emirembe gyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
olwo bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi bajja kuyita mu miryango gy’ekibuga n’abakungu baabwe. Bo n’abakungu baabwe baakujja ng’abamu bavuga amagaali abalala nga beebagadde embalaasi, nga bawerekeddwako abasajja ba Yuda n’abo abali mu Yerusaalemi era ekibuga kino kiribeerwamu emirembe gyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale mu miryango gy'ekibuga kino munaayingirangamu bakabaka n'abalangira abatuula ku ntebe ya Dawudi, nga bali ku magaali era nga beebagadde embalaasi, bo n'abakungu baabwe, abasajja ba Yuda, n'abo bonna abatuula mu Yerusaalemi; n'ekibuga kino kinaabangamu abantu lubeerera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo bakabaka baabwe n'abalangira banaayitanga mu miryango gy'ekibuga kino, era banaabeeranga n'obuyinza nga Dawudi bwe yalina. Awamu n'abantu b'omu Buyudaaya, n'ab'omu Yerusaalemu banaatambuliranga mu magaali era baneebagalanga embalaasi, era ekibuga Yerusaalemu kinaabangamu abantu bulijjo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale mu miryango gy'ekibuga kino munaayingirangamu bakabaka n'abalangira abatudde ku ntebe ya Dawudi, nga bali ku magaali era nga beebagadde embalaasi, bo n'abakungu baabwe, abasajja ba Yuda n'abaliba mu Yerusaalemi: n'ekibuga kino kinaabanga kya lubeerera.