Jeremiah 17:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu baliva mu bibuga bya Yuda ne mu byalo ebyetoolodde Yeruzaalemu, n'okuva mu nsi ya Benyamiini, ne mu Sefela, ne mu nsozi, ne mu Negevu, nga baleeta ebitambiro ebyokye n'ebyonziira, n'ebitone eby'obuwunga, obubaani, n'ebitambiro eby'okwebaza mu nnyumba y'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu balijja okuva mu bibuga bya Yuda ne mu byalo ebiriraanye Yerusaalemi, okuva mu bitundu bya Benyamini ne mu biwonvu ne mu nsozi z’ebugwanjuba, n’okuva mu nsi ey’ensozi ey’e Negevu, nga baleeta ebiweebwayo ebyokebwa, ne ssaddaaka, ebiweebwayo eby’empeke, n’obubaane era n’ebiweebwayo eby’okwebaza mu nnyumba ya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era abantu balijja nga bava mu bibuga bya Yuda ne mu bifo ebyetoolodde Yerusaalemi ne mu nsi ya Benyamini, okuva mu Sefala ne mu nsi ey'ensenyi ne ku nsozi ne mu bukiikaddyo, nga baleeta ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka n'ebitone n'omugavu, era nga baleeta ssaddaaka ez'okwebaza mu nnyumba ya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu banaavanga mu bibuga bya Buyudaaya ne mu miriraano gya Yerusaalemu, era banaavanga mu kitundu kya Benyamiini, ne mu kitundu eky'ensenyi, ne mu nsozi, ne mu bukiikaddyo obwa Buyudaaya, ne bajja mu Ssinzizo, okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa, n'ekitambiro n'ebirabo eby'emmere ey'empeke, n'obubaane, nga beebaza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era balijja nga bavudde mu bibuga bya Yuda ne mu bifo ebyetoolodde Yerusaalemi ne mu nsi ya Benyamini ne mu nsi ey'ensenyi ne ku nsozi ne mu bukiika obwa ddyo, nga baleeta ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka n'ebitone n'omugavu, era nga baleeta ssaddaaka ez'okwebaza mu nnyumba ya Mukama.