Jeremiah 17:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bwe mutampulire kukuuma Sabbaato nga ntukuvu, ne muyingira mu miryango gya Yeruzaalemu ku lunaku lwa Sabbaato nga musitudde ebizito, olwo ndikoleeza omuliro mu miryango gyakyo ogulyokya embiri z'omu Yeruzaalemu, era tegugenda kuzikirizibwa.” ’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe mutaŋŋondere kukuuma lunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu ne mwetikkirako emigugu gyammwe nga mufuluma mu nguudo za Yerusaalemi ku lunaku olwa Ssabbiiti, ndikoleeza omuliro ogutazikira mu miryango gya Yerusaalemi oguliyokya ebigo byakyo.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwe mutampulirenga okutukuza olunaku olwa Ssabbiiti, obutatwalanga mugugu newakubadde okuyingiriranga mu miryango gy'e Yerusaalemi ku lunaku olwa Ssabbiiti; kale ndikumira omuliro mu miryango gyakyo, era gulyokya amayumba ag'e Yerusaalemi, so tegulizikizibwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bateekwa okumpulira n'okutukuza olunaku lwa Sabbaato. Mbagaanye okuyitanga mu miryango gya Yerusaalemu nga balina emigugu ku Sabbaato. Bwe balikikola ekyo kye mbagaanye, emiryango egyo ndigiteekera omuliro. Gulyokya amayumba g'omu Yerusaalemu, era tegulizikizibwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe mutampulirenga okutukuza olunaku olwa ssabbiiti, obutatwalanga mugugu newakubadde okuyingiriranga mu miryango gy'e Yerusaalemi ku lunaku olwa sabbiiti; kale ndikumira omuliro mu miryango gyakyo, era gulyokya amayumba ag'e Yerusaalemi, so tegulizikizibwa.