Jeremiah 17:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olusozi lwange ku museetwe, ebintu byammwe n'eby'obugagga bwammwe ndibiwaayo ne binyagibwa olw'okubeera ekibi ky'ebifo byo ebigulumivu mu nsi yo yonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olusozi lwange oluli mu nsi, obugagga bwammwe n’ebintu byo eby’omuwendo byonna, ndibiwaayo byonna binyagibwe n’ebifo byammwe ebigulumivu kwe musaddaakira olw’ekibi ekibunye mu nsi yonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne ku nsozi eziri mu nnimiro. Eby'obugagga byo byonna n'ebintu byo byonna eby'omuwendo, ndibiwaayo ng'omunyago, okusasulira okwonoonakwo mu nsalo zo zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne ku nsozi eziri mu ttale. Abalabe bammwe ndibagabula ebintu byammwe n'obugagga bwammwe, okubasasuza olw'ebibi bye mwakola mu nsi yammwe yonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai olusozi lwange oluli mu nnimiro, ndigabula ebintu byo n'obugagga bwo bwonna okuba omunyago, n'ebifo byo ebigulumivu olw'okwonoona, mu nsalo zo zonna.