Jeremiah 17:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olireka awo obusika bwo bwe nakuwa; ndikufuula muweereza wa balabe b'omu nsi gy'otamanyi, kubanga okoleezezza obuswandi bwange, ate bwa kwaka emirembe gyonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musango gwo ggwe nti olifiirwa ensi gye nakuwa okuba omugabo gwo, ndikufuula muddu wa balabe bo mu nsi gy’otomanyangako, kubanga mu busungu bwange omuliro gukoleezeddwa ogunaayakanga emirembe gyonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naawe ku bubwo wekka oliva mu busika bwo bwe nnakuwa; era ndikuleetera okuweereza abalabe bo mu nsi gy'otomanyi; kubanga mu busungu bwange omuliro gukumiddwa okwaka emirembe gyonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muliteekwa okuwaayo ensi yammwe gye nabawa, era muliweereza abalabe bammwe mu nsi gye mutamanyi, kubanga mukoleezezza omuliro mu busungu bwange, obunaabuubuukanga olubeerera.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naawe olivaamu ku bubwo wekka mu busika bwo bwe nnakuwa; era ndikuweerezesa abalabe bo mu nsi gy'otomanyi: kubanga mukumye omuliro mu busungu bwange obunaabuubuukanga emirembe gyonna.