Jeremiah 17:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba: “Avumirirwe oyo eyeesiga omuntu, amaanyi ge agamuli mu muntu obuntu, omutima gwe oguva ku Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Akolimiddwa oyo eyeesiga omuntu era eyeesiga omubiri okuba amaanyi ge, era alina omutima oguva ku Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Akolimiddwa omusajja oyo eyeesiga abantu, n'afuula omubiri okuba ensibuko ya maanyi ge, n'omutima gwe ne guva ku Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Zimusanze oyo anvaako ne yeesiga era ne yeeyinula omuntu obuntu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Akolimiddwa omusajja oyo eyeesiga abantu, n'afuula omubiri okuba omukono gwe, n'omutima gwe guva ku Mukama.