Jeremiah 17:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Afaanana ng'akasaka akali mu ddungu; tagenda kumanya kirungi we kirituukira; alibeera eyo mu bifo ebikalu mu ddungu, mu nsi ey'olunnyo, omutali asengamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Aliba ng’ekisaka mu ddungu, ataliraba birungi bwe birijja, naye alibeera mu biwalakate mu ddungu, ensi ey’omunnyo omutali abeeramu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga alifaanana omwoloola oguli mu ddungu, so taliraba ebirungi ebirijja; naye alibeera mu biwalakate mu ddungu, ensi ey'omunnyo eteriimu bantu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Afaanaanyirizibwa n'omuti oguli mu ddungu, ogukulira awakalu mu lunnyo awatali kirala kikulirawo. Tagenda kutuukibwako birungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga alifaanana omwoloola oguli mu ddungu, so taliraba ebirungi bwe birijja; naye alibeera mu biwalakate mu ddungu, ensi ey'omuunyo so eteriimu bantu.