Jeremiah 17:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wabula yeesiimye omuntu eyeesiga Omukama; essuubi lye nga liri mu ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye alina omukisa omusajja oyo eyeesiga Mukama, nga Mukama ly’essuubi lye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“ Naye alina omukisa omusajja oyo eyeesiga Mukama, era Mukama nga lye ssuubi lye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye wa mukisa oyo anneesiga Nze Mukama, era asuubira mu Nze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Alina omukisa omusajja oyo eyeesiga Mukama, era Mukama lye ssuubi lye.