Jeremiah 17:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ali ng'omuti omusimbe okumpi n'amazzi, ogulandiza emirandira gyagwo eri omwala; ekyeya ne bwe kirijja, tegulina kye gutya, ebikoola byagwo bulijjo bya kiragala. Mu biseera eby'ekyeya tewali kigweraliikiriza, tegulirekera awo kubala.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ali ng’omuti ogusimbiddwa awali amazzi, ne gulandiza emirandira gyagwo ku mabbali g’omugga, nga wadde omusana gujja, tegutya n’amakoola gaagwo tegawotoka, so tegulyeraliikirira mu mwaka ogw’ekyeya era teguliremwa kubala bibala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga aliba ng'omuti ogwasimbibwa awali amazzi, emirandira gyagwo ne gikula nga gidda awali omugga, so tegulitya musana bwe gwaka ennyo, naye amalagala gaagwo galyera; so tegulyeraliikiririra mu mwaka ogw'ekyeya, so tegulirekayo kubala bibala.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Afaanaanyirizibwa n'omuti ogwasimbibwa okumpi n'omugga, emirandira gyagwo ne gikula nga gidda eri amazzi. Tegulitya musana ne bwe gwaka ennyo. Ebikoola byagwo bisigala biddugazza. Tegulina kye gweraliikirira mu biseera eby'ekyeya: tegulekaayo kubala bibala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga aliba ng'omuti ogwasimbibwa awali amazzi, ne gulanda emmizi gyagwo awali omugga, so tegulitya musana bwe gwaka ennyo, naye amalagala gaagwo galiyera; so tegulyeraliikiririra mu mwaka ogw'ekyeya, so tegulirekayo kubala bibala.