Jeremiah 18:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno gamba abantu ba Yuda n'abasula mu Yeruzaalemu nti: ‘Omukama kino ky'agamba: Ndiko akabi ke mbategekera, ndiko kye ndowooza okubakola. Awo nno buli omu ave mu kkubo lye ebbi; mutereeze amakubo gammwe n'ebikolwa byammwe.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Noolwekyo gamba abantu ba Yuda n’abo ababeera mu Yerusaalemi nti, ‘Kino Mukama ky’ayogera nti, Laba ntekateeka okubatuusaako ekikangabwa era nteesezza okubakola akabi. Kale muve mu makubo gammwe amabi, buli omu ku mmwe, mukyuse enneeyisa yammwe n’ebikolwa byammwe.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno gamba abasajja ba Yuda n'abali mu Yerusaalemi nti, ‘Laba, nteesa obubi ku mmwe era nteeketeeka okubabonereza, mukomewo nno buli muntu ng'ava mu kkubo lye ebbi, mulongoose amakubo gammwe n'ebikolwa byammwe.’”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano, tegeeza abantu b'omu Buyudaaya n'ab'omu Yerusaalemu nti nteesezza okubakolako akabi, era nteekateeka okubabonereza. Bategeeze beenenye, buli omu ave mu mpisa ze embi. Balongoose empisa zaabwe n'ebikolwa byabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno gamba abasajja ba Yuda n'abali mu Yerusaalemi nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, mbateesezzaako obubi era mbasalira amagezi: mukomeewo nno buli muntu ng'ava mu kkubo lye ebbi, mulongoose amakubo gammwe n'ebikolwa byammwe.