Jeremiah 18:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye baliddamu nti: ‘Bya busa! Tujja kukola nga bwe tulowooza; tujja kugoberera buli omu bukakanyavu bwa mutima gwe omubi.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ne boogera nti, ‘Tekirina kye kigasa. Tujja kugenda mu maaso n’entegeka yaffe; buli omu ku ffe anaakolanga ng’obukakanyavu bw’omutima gwe bwe buli.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Naye bo ne boogera nti, ‘Tewali ssuubi! kubanga tunaatambulanga okugoberera ebyo bye twagunja ffe, era tunaakolanga buli muntu ng'obukakanyavu bw'omutima gwe omubi bwe buli.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bajja kukuddamu nti: ‘Nedda, tetujja kukyuka n'akatono. Tujja kukola kye twagala era buli omu ajja kukola ekiri mu mutima gwe omukakanyavu era omubi.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ne boogera nti Tewali ssuubi: kubanga tunaatambulanga okugoberera ebyo bye twagunja ffe, era tunaakolanga buli muntu ng'obukakanyavu bw'omutima gwe omubi bwe buli.