Jeremiah 18:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'olw'ekyo Omukama kino ky'agamba: “Mubuulirize mu mawanga; eriyo eyali awulidde ekiri nga kino? Embeerera wa Yisirayeli akoze ekyesisiwaza ennyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo bw’ati Mukama ng’agamba nti, “Mwebuuzeeko mu mawanga. Ani eyali awuliddeko ekintu bwe kiti? Muwala wange Isirayiri akoze ekintu eky’ekivve.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“N'olwekyo bwati bwayogera Mukama nti, Mubuuze nno mu mawanga, oba eriyo eyali awulidde ebigambo ebyenkana awo? Omuwala wa Isiraeri atamanyi musajja akoze ekigambo eky'ekivve ennyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Mubuuze mu mawanga. Eriyo eyali awulidde ekiri ng'ekyo? Abantu ba Yisirayeli bakoze eby'ekivve!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama kyava ayogera bw'ati nti Mubuuze nno mu mawanga eyali awulidde ebigambo ebyenkana awo; omuwala wa Isiraeri akoze ekigambo eky'ekivve ennyo.