Jeremiah 18:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuzira gwe Lebanoni guggwa ku njazi z'obuyiringito bwalwo? Oba amazzi amannyogovu gayinza okukalira, ago ag'emigga egisimbuka mu nsi ez'ewala?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuzira oguli ku Lebanooni gwali guwedde ku njazi zaakwo? Amazzi gaakwo amannyogovu agava ewala gaali galeseeyoko okukulukuta?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuzira oguli ku Lebanooni guliggweerawo ku lwazi olw'oku ttale? Amazzi amannyogovu agakulukuta agava ewala galikalira?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Enjazi z'oku ntikko ya Lebanooni ziggweebwako omuzira? Amazzi amannyogovu agava mu nsozi eza Lebanooni galekayo okukulukuta?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuzira oguli ku Lebanooni guliggweerawo ku lwazi olw'oku ttale? amazzi amannyogovu agakulukuta agava ewala galikalira?