Jeremiah 18:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sso bo abantu bange banneerabidde; banyookeza ebitaliimu obubaani. Basinzittuse mu makubo gaabwe, mu bukubo bwabwe obw'edda. Babatambulizza mu bukubokubo, mu makubo agatannakolebwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ate abantu bange banneerabidde, banyookezza obubaane eri bakatonda abalala, abaleetera okwesittala mu makubo gaabwe era ne mu makubo ag’edda era ne balaga mu bukubokubo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga abantu bange banneerabidde, booterezza ba katonda obubaane; beesittadde mu makubo gaabwe, mu makubo ag'edda, ne batambulira mu mpenda, ne mu kkubo eritali ssende;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye abantu bange banneerabidde. Booterezza balubaale obubaane. Beesittadde mu makubo gaabwe ge baatambuliramu okuva edda, ne batambulira mu bisinde ne mu bukubo obuzise.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga abantu bange banneerabidde, bookerezza obubaane ebitaliimu; era babeesittazizza mu makubo gaabwe, mu makubo ag'edda, okutambulira mu mpenda, mu kkubo eritali ssende;