Jeremiah 18:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensi yaabwe bagifudde eky'entiisa, ekintu ekinyoomebwa emirembe gyonna; buli muyise aliwuniikirira; alinyeenya mutwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensi yaabwe ya kusigala matongo, ekintu eky’okusekererwa emirembe gyonna, abo bonna abayise balyewuunya era ne banyeenya emitwe gyabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
okufuula ensi yaabwe ekyewuunyo n'okusoozebwanga ennaku zonna; buli muntu anaayitangawo aneewuunyanga n'anyeenya omutwe gwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensi yaabwe bagifudde ya ntiisa, era eneenyoomebwanga bulijjo. Buli muyise aneewuunyanga nga bw'anyeenya n'omutwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
okufuula ensi yaabwe ekyewuunyo n'okusoozebwanga ennaku zonna; buli muntu anaayitangawo aneewuunyanga n'anyeenya omutwe gwe.