Jeremiah 18:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga kikuŋŋunta ow'ebuvanjuba ndibasaasaanya mu maaso g'omulabe; ndibakuba nkoona, siribatunuulira ku lunaku olw'okuzikirira kwabwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndibasaasaanya mu maaso g’abalabe baabwe ng’empewo eva ebuvanjuba; ndibalaga mabega so si maaso gange ku lunaku olw’okulabirako ennaku.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nga embuyaga eziva ebuvanjuba, ndibasaasaanya mu maaso g'abalabe baabwe. Nditunuulira amabega gaabwe so si mu maaso gaabwe ku lunaku mwe balirabira obuyinike.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndisaasaanya abantu bange mu maaso g'abalabe baabwe, ng'enfuufu bw'etwalibwa embuyaga eva mu buvanjuba. Nga bali mu buyinike, ndibakuba mabega, siribakyukira kubayamba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ndibasaasaanya nga n'embuyaga eziva ebuvanjuba mu maaso g'omulabe; nditunuulira amabega gaabwe so si maaso gaabwe ku lunaku mwe balirabira obuyinike.