Jeremiah 18:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekirungi yandikisasuddwamu na kibi? Kubanga nze bansimidde obuya. Jjukira nga bwe nayimiriranga mu maaso go ne mbawolereza gy'oli okubataasa obusungu bwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebikolwa ebirungi binaasasulwanga na bikolwa ebibi? Bansimidde obunnya. Ojjukire nga nayimirira mu maaso go ne nkaaba ku lwabwe, nga nsaba olekeraawo okubasunguwalira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obubi bulisasulwa olw'obulungi? Naye basimye obunnya olw'obulamu bwange. Jjukira bwe nnayimiriranga mu maaso go, okuboogerera ebirungi, okukyusa ekiruyi kyo kibaveeko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekirungi kisasulwamu kibi? Basimye obunnya nga baagala ngweemu. Jjukira bwe nayimirira mu maaso go, ayi Mukama, ne mbawolereza oleme kubasunguwalira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obubi bulisasulwa olw'obulungi? kubanga basimidde emmeeme yange obunnya. Jjukira bwe nnayimirira mu maaso go okuboogerera bo ebirungi okukyusa ekiruyi kyo kibaveeko.