Jeremiah 18:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno, abaana baabwe balekere enjala, bagabule eri amaanyi g'ekitala; bakazi baabwe bafiise abaana, era bafuuke na bannamwandu; babbaabwe bafe kawumpuli, ne batabani baabwe battibwe ekitala mu lutalo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo abaana baabwe baleke bafe enjala, obaweeyo battibwe n’ekitala. Leka bakazi baabwe bafuuke bagumba era babe bannamwandu; abasajja baabwe battibwe; abavubuka baabwe batirimbulwe n’ekitala mu lutalo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale waayo abaana baabwe bafe enjala, obagabule eri obuyinza bwe kitala; bakazi baabwe bafiirwe abaana baabwe era babe bannamwandu; n'abasajja baabwe battibwe, n'abalenzi baabwe bafumitibwe n'ekitala mu lutalo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano, ayi Mukama, leka abaana baabwe bafe enjala. Leka battirwe mu lutalo. Abakazi basigale nga tebalina baana, era bafiirwe babbaabwe. Abasajja bafe endwadde, abavubuka bafiire mu lutalo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale waayo abaana baabwe eri enjala, obagabule eri obuyinza obw'ekitala; bakazi baabwe bafiirwe abaana baabwe era babe bannamwandu; n'abasajja baabwe battibwe, n'abalenzi baabwe bafumitibwe n'ekitala mu lutalo.