Jeremiah 18:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emiranga giwulirwe mu maka gaabwe, ng'obaleetedde omutemu amangu ago, kubanga bansimidde obuya okunkwata, ne bategera ebigere byange ebitimba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Leka okukaaba kuwulirwe nga kuva mu nnyumba zaabwe, bwe banaalumbibwa ne bazindibwa embagirawo, kubanga bansimidde ekinnya bankwate era bateze ebigere byange emitego.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okukaaba kuwulirwe okuva mu nnyumba zaabwe, bw'olibaleetako ekibiina kya banyazi nga tebamanyiridde; kubanga basimye obunnya okunsuulamu, era bakwekedde ebigere byange ebyambika.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Basindikire ekibinja ky'abanyazi kigende kinyage ebyabwe, nga tebamanyiridde, emiranga giryoke giwulirwe mu mayumba gaabwe, kubanga basimye obunnya nga baagala ngweemu, era bateze emitego nga baagala ginkwase.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okukaaba kuwulirwe okuva mu nnyumba zaabwe, bw'olibaleetako ekibiina nga tebamanyiridde: kubanga basimye obunnya okunkwata, era bakwekedde ebigere byange ebyambika.