Jeremiah 18:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ggwe, ayi Mukama, omanyi enkwe zaabwe zonna okunzita. Tobasonyiwa musango gwabwe, n'ekibi kyabwe tokisangula mu maaso go. Balindiggulwe awo mu maaso go; bakoleko mu bbanga ly'obusungu bwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Ayi Mukama, gw’omanyi byonna, bye bateesa banzite. Tobasonyiwa byonoono byabwe wadde okusangulawo ebibi byabwe mu maaso go. Obawangulire ddala, era obabonereze mu kiseera ky’obusungu bwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era naye, Mukama, ggwe omanyi byonna bye bateesa okunzita; tosonyiwa bubi bwabwe, so tosangula kwonoona kwabwe mu maaso go, naye basuulibwe mu maaso go; obabonereze mu kiseera eky'obusungu bwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye, ayi Mukama, omanyi enkwe zaabwe. Tobasonyiwa kibi kyabwe, era tobaggyaako musango. Bamegge mu maaso go, obakoleko ng'obasunguwalidde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naye, Mukama, ggwe omanyi byonna bye bateesa okunzita; tosonyiwa bubi bwabwe, so tosangula kwonoona kwabwe mu maaso go: naye basuulibwe mi maaso go; obabonereze mu kiseera eky'obusungu bwo.