Jeremiah 18:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensumbi gye yali akola n'etavaamu bulungi nga bwe kitera okuba ku bbumba mu mikono gy'omubumbi. N'akolamu ensumbi endala mu ngeri ye gye yayagala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ekintu kye yali abumba kyali kyonoonekedde mu ngalo ze, omubumbi kyeyava akibumbamu ekintu ekirala ng’akibumba nga bwe yasiima.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ekintu kye yabumbanga bwe kyayonoonekeranga mu mukono gw'omubumbi, yaddiranga ebbumba, n'abumbamu ekintu ekirala ng'omubumbi bwe yasiimanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kye yabumbanga bwe kyayonoonekanga, ng'ebbumba lyakyo alibumbamu ekintu ekirala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ekintu kye yali akola n'ebbumba bwe kyayonoonekera mu mukono gw'omubumbi, n'akibumba nate okuba ekintu ekirala ng'omubumbi bwe yasiima okukibumba.