Jeremiah 18:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
naye eggwanga eryo lye nalabula limala liva mu bugwenyufu bwalyo, olwo ndyeddamu ku kabi ke mbadde nditegekera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era singa eggwanga lye nalabula lyenenya ebibi byalyo, olwo ndyejjusa ne sibatuusaako kabi ke nnali ŋŋambye okubakola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye eggwanga eryo lye njogeddeko bwe lirikyuka okuleka obubi bwabwe, ndyejjusa obubi bwe nnali ndowooza okubakola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
naye eggwanga eryo ne likyuka, ne lirekayo okukola ebibi, sirikola kye mba ŋŋambye kukola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
eggwanga eryo lye njogeddeko bwe lirikyuka okuleka obubi bwabwe, ndyejjusa obubi bwe nnali ndowooza okubakola.