Jeremiah 19:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba: “Genda ogule ensumbi ey'ebbumba ew'omubumbi. Ddira abamu ku bakadde b'abantu n'abamu ku bakabona abakulu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Genda ogule ensumbi ey’ebbumba okuva ku mubumbi. Twala abamu ku bakadde ne ku bakabona,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Genda ogule ensumbi ey'ebbumba ery'omubumbi, otwale ku bakadde b'abantu ne ku ba bakabona abakulu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Yeremiya, genda ogule ensumbi ey'ebbumba, otwale abamu ku bantu abakulu mu ggwanga, n'abamu ku bakabona abakulu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Genda ogule ensumbi ey'ebbumba ey'omubumbi, otwale ku bakadde b'abantu ne ku bakadde ba bakabona;