Jeremiah 19:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'obagamba nti: ‘Omukama w'Amagye kino ky'agamba: Nzija kubetenta eggwanga lino n'ekibuga kino ng'ensumbi y'omubumbi bw'eyatiseyatise obulere nga tekyayinza na kuddaabirizika. Baliziika abafu mu Tofeti olw'okubulwa ekifo awalala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, Ndiyasaayasa eggwanga lino n’ekibuga kino ng’ensumbi y’omubumbi eno bw’engiyasaayasa nga tekikyayinzika kugiddaabiriza. Baliziika abafu mu Tofesi okutuusa ekifo awaziikibwa lwe kirijjula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'obagamba nti,‘ Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Era bwe ntyo bwe ndimenya abantu bano n'ekibuga kino ng'omuntu bw'amenya ekintu eky'omubumbi ekitayinzika kuyungibwa nate. Abasajja baliziika mu Tofesi kubanga tewaliba kifo kyonna kirala eky'okuziikamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'obagamba nti Mukama Nnannyinimagye agamba nti: ‘Bwe ntyo bwe ndibetenta abantu bano n'ekibuga kino, ng'omuntu bw'ayasa ekintu eky'ebbumba, ekitayinza kuddamu kuyungibwa. Abantu baliziika ne mu Tofeti, olw'obutaba na kifo kirala kya kuziikamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'obagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Era bwe ntyo bwe ndimenya abantu bano n'ekibuga kino ng'omuntu bw'amenya ekintu ky'omubumbi ekitayinzika kuyungibwa nate: era baliziikira mu Tofesi okutuusa lwe watalibaawo bbanga lya kuziikamu.