Jeremiah 19:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennyumba za Yeruzaalemu n'ezo eza bakabaka ba Yuda zirifaafaagana ng'ekifo kino ekya Tofeti: amayumba gonna ku busolya bwago kwe baaweerereza ebitambiro nnamunkukumbo yenna ow'eggulu ne bawongera balubaale ebitone eby'okuyiwa.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amayumba g’omu Yerusaalemi n’aga bakabaka ba Yuda galiyonoonebwa ng’ago mu Tofesi, ennyumba zonna mwe booterezza obubaane eri eggye lyonna erya bakatonda ab’omu bbanga, ne baweerayo ekiweebwayo ekyokunywa.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ennyumba ez'e Yerusaalemi n'ennyumba za bassekabaka ba Yuda, ennyumba zonna ze baayotererezangako waggulu obubaane eri eggye lyonna ery'eggulu, era ne bafukira bakatonda abalala ebiweebwayo eby'okunywa, ziriba zoonoonese ng'ekifo Tofesi.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ennyumba z'omu Yerusaalemu, n'eza bakabaka ba Buyudaaya, era n'ennyumba zonna mwe baayoterezanga obubaane eri emmunyeenye, n'ezo mwe baafukiranga ebyokunywa ebiweebwayo eri balubaale, zonna ziriba nnyonoonefu nga Tofeti.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ennyumba ez'e Yerusaalemi n'ennyumba za bassekabaka ba Yuda ezoonoonese ziriba ng'ekifo Tofesi, ennyumba zonna ze baayotererezangako waggulu obubaane eggye lyonna ery'eggulu, ne bafukira bakatonda abalala ebiweebwayo ebyokunywa.