Jeremiah 19:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yeremiya n'ava e Tofeti, Omukama gye yali amutumye okulaga, n'ajja ayimirira mu luggya lw'Ekiggwa ky'Omukama, n'ayogera eri abantu bonna nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yeremiya n’akomawo okuva e Tofesi Mukama gye yali amutumye okuwa obunnabbi, n’ayimirira mu mbuga ya yeekaalu ya Mukama n’agamba abantu bonna nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yeremiya n'ajja ng'ava e Tofesi Mukama gye yali amutumye okwogera ebigambo; n'ayimirira mu luggya olw'ennyumba ya Mukama, n'agamba abantu bonna nti,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne nva e Tofeti, Mukama gye yali antumye okulangirira obubaka bwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yeremiya n'ajja ng'ava e Tofesi Mukama gye yali amutumye okulagula; n'ayimirira mu luggya olw'ennyumba ya Mukama, n'agamba abantu bonna nti