Jeremiah 19:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli, kino ky'agamba: ‘ŋŋenda okuleeta ku kibuga kino ne ku byalo ebikyetoolodde byonna obubenje bwonna bwe nabiwerera, kubanga baakakanyaza ensingo zaabwe, tebaawulira bigambo byange.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Muwulirize, ndireeta ku kibuga kino ne ku bubuga obukyetoolodde buli kikangabwa kyonna kye nakirangirirako, kubanga baakakanyaza ensingo zaabwe ne batagondera bigambo byange.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri nti, Laba, ndireeta ku kibuga kino ne ku mbuga zaakyo zonna obubi bwonna bwe nnakirangirirako; kubanga bakakanyaza ensingo zaabwe, ne bagaana okuwulira ebigambo byange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne ŋŋenda ne nnyimirira mu luggya lw'Essinzizo, ne ntegeeza abantu nti: “Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli agamba nti: ‘Ndituusa akabi ku kibuga kino, ne ku bubuga obukiriraanye, ke nagamba okukituusaako, kubanga abantu bakakanyazizza emitima gyabwe, ne batawuliriza bye mbagamba.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri nti Laba, ndireeta ku kibuga kino ne ku mbuga zaakyo zonna obubi bwonna bwe nnakyogerako; kubanga bakakanyazizza ensingo yaabwe baleme okuwulira ebigambo byange.