Jeremiah 19:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Onoogamba nti: ‘Muwulire ekigambo ky'Omukama, mmwe bakabaka ba Yuda, nammwe abasula mu Yeruzaalemu. Omukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli, kino ky'agamba: Nzija kuleeta akabi mu kifo kino; yenna alikawulirako, amatu galimuwaawaala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ogambe nti, ‘Muwulire ekigambo kya Mukama mmwe bakabaka ba Yuda nammwe abali mu Yerusaalemi, bw’atyo bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Muwulirize! Ndireeta ekikangabwa mu kifo kino ekiriwaawaaza buli kutu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Onooyogera nti, ‘Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe bassekabaka ba Yuda, nammwe abali mu Yerusaalemi; bw'atyo bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri nti, Laba, ndireeta obubi ku kifo kino, obulyanaamiriza amatu ga buli muntu alibuwulira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ojja kugamba nti: ‘Mmwe bakabaka ba Buyudaaya, nammwe abantu b'omu Yerusaalemu, muwulire obubaka bwa Mukama. Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli agamba nti: Nja kuleeta akabi ku kifo kino, akaliwaawaaza amatu ga buli omu alikawulirako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
oyogere nti Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe bassekabaka ba Yuda nammwe abali mu Yerusaalemi; bw'atyo bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri nti Laba, ndireeta obubi ku kifo kino, obulyamiriza amatu ga buli muntu alibuwulira.