Jeremiah 19:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga banjabulira, n'ekifo kino ne bakifuula kirala; baatambirira balubaale mu kifo kino, bo, bajjajjaabwe ne bakabaka ba Yuda be batamanyangako; ekifo kino ne bakijjuza omusaayi gw'abataliiko musango.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga banvuddeko ekifo kino ne bakifuula ekya bakatonda abalala. Bookerezaamu ebiweebwayo eri bakatonda, bakitaabwe wadde bakabaka ba Yuda be batamanyangako, nga bajjuzza ekifo kino omusaayi gw’abataliiko musango.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bandekawo ne bakaafuwaza ekifo kino, ne bootereza omwo obubaane eri bakatonda abalala, be batamanyanga, bo ne bajjajjaabwe ne bassekabaka ba Yuda; era bajjuza ekifo kino omusaayi gw'abantu abataliiko musango;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nja kukola ekyo, kubanga abantu bange banvaako ne bootereza balubaale obubaane, bo bennyini ne bajjajjaabwe, wadde bakabaka ba Buyudaaya, be batamanyangako, era bajjuzza ekifo kino omusaayi gw'abantu abatalina musango.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bandekawo ne bakaafuwaza ekifo kino, ne bootereza omwo bakatonda abalala obubaane, be batamanyanga bo ne bajjajjaabwe ne bassekabaka ba Yuda; era bajjuza ekifo kino omusaayi ogutaliiko musango;