Jeremiah 19:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno ennaku zijja, Omukama y'agamba, ekifo kino nga tekikyayitibwa Tofeti, oba nti Kiwonvu kya Beni-Yinnomu, wazira nti Ekiwonvu ky'Ettambiro
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Mwegendereze, ennaku zijja, ng’ekifo kino abantu tebakyakiyita Tofesi newaakubadde Kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, wabula nga bakiyita ekiwonvu eky’ettambiro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale, laba ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, ekifo kino nga tekikyayitibwa nti Tofesi newakubadde nti Kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, naye nti Kiwonvu eky'okuttirwamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale ekiseera kijja kutuuka, ekifo kino kibe nga tekikyayitibwa Tofeti oba Ekiwonvu Beninnomu, naye kinaayitibwanga Kiwonvu kya Ttambiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale, laba ennaku zijja, bw'ayogera Mukama ekifo kino lwe kitakyayitibwa nti Tofesi newakubadde nti Kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, naye nti Kiwonvu eky'okuttirwamu.