Jeremiah 19:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kifo kino mwe ndifululira entegeka za Yuda ne Yeruzaalemu, ndibaleka ne battibwa ekitala mu maaso g'abalabe baabwe n'emikono gy'abo abanoonya obulamu bwabwe; emirambo gyabwe ndigiwa ebinyonyi eby'omu bbanga n'ebisolo eby'oku nsi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Mu kifo kino ndizikiriza entegeka za Yuda ne Yerusaalemi. Ne mbawaayo mu mikono gy’abalabe baabwe battibwe n’ekitala, era ndiwaayo emirambo gyabwe okuba emmere y’ebinyonyi eby’omu bbanga n’ebisolo eby’omu nsiko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era mu kifo kino ndisaanyaawo okuteesa kwa Yuda ne Yerusaalemi; era ndibasuula n'ekitala mu maaso g'abalabe baabwe, era ne mu mukono gw'abo abanoonya obulamu bwabwe; n'emirambo gyabwe ndigigabula okuba eby'okulya eri ennyonyi ez'omu bbanga n'eri ensolo ez'omu nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kiwonvu kino, mwe ndisaanyizaawo ebyo abantu b'omu Buyudaaya n'ab'omu Yerusaalemu bye bateesa. Ndireka abalabe baabwe ne babawangula, era ne babattira mu lutalo. Emirambo gyabwe ndigigabula ebinyonyi n'ebisolo ne bigirya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nditta okuteesa kwa Yuda ne Yerusaalemi mu kifo kino; era ndibagwisa n'ekitala mu maaso g'abalabe baabwe, era n'omukono gw'abo abanoonya obulamu bwabwe: n'emirambo gyabwe ndigigabula okuba eby'okulya eri ennyonyi ez'omu bbanga n'eri ensolo ez'omu nsi.