Jeremiah 19:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekibuga kino ndikifuula ekifo eky'entiisa, ekinyoomebwa, buli muyise aliwuniikirira n'afuuwa ekiwa okulaba engeri gye kikubiddwamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndidibaga ekibuga kino ne nkifuula eky’okusekererwa, n’abo bonna abayitawo bennyamire era baseke olw’ebiwundu byakyo byonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndifuula ekibuga kino ekyewuunyo era eky'okusoozebwanga; buli aliyitawo alyewuunya n'asooza olw'ebibonoobono byakyo byonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndizikiriza ekibuga kino. Buli ayitawo anaakwatanga mu mumwa, nga yeewuunya eby'entiisa ebikituuseeko.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndifuula ekibuga kino ekyewuunyo era okusoozebwanga; buli aliyitawo alyewuunya n'asooza olw'ebibonoobono byakyo byonna