Jeremiah 19:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndibaliisa ennyama y'abaana baabwe n'eya bawala baabwe, na buli omu alirya ennyama ya munne mu biseera eby'ennaku n'obuyinike abalabe baabwe abanoonya obulamu bwabwe bye balibalabya.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’okuzingizibwa n’okunyigirizibwa abalabe baabwe abanoonya okubatta, ndibaliisa emirambo gya batabani baabwe n’egy’abawala baabwe era buli omu alirya munne.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndibaliisa omubiri gwa batabani baabwe, n'omubiri gw'abawala baabwe, era balirya buli muntu omubiri gwa mukwano gwe, mu kuzingizibwa ne mu kunyigirizibwa abalabe baabwe, n'abo abanoonya obulamu bwabwe balibanyigiriza.’”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abalabe balikizingiza okutta abakirimu. Mu kuzingizibwa okwo, abakirimu baliryaŋŋana, era balirya n'abaana baabwe.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndibaliisa omubiri gwa batabani baabwe, n'omubiri gw'abawala baabwe, era balirya buli muntu omubiri gwa mukwano gwe mu kuzingizibwa ne mu kunyigirizibwa abalabe baabwe, n'abo abanoonya obulamu bwabwe kwe balibanyigiriza.