Jeremiah 2:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Waali wabaddewo eggwanga eryali likyusizza balubaale baalyo? So nno ate bo mu butuufu si balubaale, naye abantu bange ekitiibwa kyabwe bakiwanyisaamu n'ekitaliimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waali wabaddewo eggwanga erikyusa bakatonda baalyo, wadde nga si bakatonda, naye nga bitaliimu? Naye abantu bange baawaanyisa ekitiibwa kyabwe n’ebitagasa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Waliwo eggwanga eryawaanyisa bakatonda baalyo, newakubadde nga si bakatonda ddala? Naye abantu bange baawaanyisa ekitiibwa kyabwe olw'ekyo ekitagasa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waliwo eggwanga erikyusa balubaale baalyo, ne bwe bataba balubaale ddala? Naye abantu bange, mu kifo kyange Nze Katonda abaweesezza ekitiibwa, bataddewo balubaale abataliiko kye bagasa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Waliwo eggwanga eryawaanyisa bakatonda baabwe, abatali bakatonda naye? naye abantu bange baawaanyisa ekitiibwa kyabwe olw'ekyo ekitaliiko kye kigasa.