Jeremiah 2:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati okima ki e Misiri okunywa amazzi ga Sikori, Kiki ekikutwala mu Assuri okunywa amazzi g'Omugga?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano olowooza onooganyulwamu ki okugenda okukolagana ne Misiri? Olowooza kiki ky’onoganyulwa bw’onogenda okukolagana ne Bwasuli?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno ogasibwa ki mu kugenda e Misiri okunywa amazzi ga Kiyira? Oba ogasibwa ki mu kugenda e Bwasuli, okunywa amazzi ag'Omugga Fulaati?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kaakano kibagasa ki okukwata ekkubo erigenda e Misiri? Okunywa amazzi ga Kiyira? Oba kale mufunamu ki, okukwata ery'e Assiriya? Okunywa amazzi g'omugga Ewufuraate?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno ofaayo ki mu kkubo erigenda e Misiri okunywa amazzi ga Sikoli? oba ofaayo ki mu kkubo erigenda e Bwasuli, okunywa amazzi ag'Omugga?