Jeremiah 2:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obugwenyufu bwo bulikubonereza, n'obujeemu bwo bulikuvunaana. Weetegereze olabe bwe kiri ekibi ate bwe kiruma, ggwe okwabulira Omukama Katonda wo, n'obutantyako n'akamu,” Omukama Katonda w'Amagye y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebibi byo byennyini bye biri kubonereza, n’okudda kwo emabega kwe kulikusalira omusango. Kale lowooza era otegeere nga bwe kiri ekibi era eky’omutawaana gy’oli bw’ova ku Mukama Katonda wo, n’oba nga tokyantya,” bw’ayogera Mukama, Katonda ow’eggye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obubi bwo ggwe buli kubonereza, era n'okuseeseetuka kwo kulikunenya. Manya era olabe nti kigambo kibi era kya bubalagaze, ggwe okuleka Mukama Katonda wo, era ng'entiisa yange teri mu ggwe,” bw'ayogera Mukama, Mukama ow'eggye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekibi kyammwe kyennyini kiribabonereza mmwe; era okunvaako kwammwe, kulibasalira omusango okubasinga. Mumanye era mulabe bwe kiri ekibi era bwe kiri eky'obulumi okunvaako Nze Mukama Katonda wammwe, era n'obutakyantya. Nze Mukama Afugabyonna Nnannyinimagye, Nze njogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obubi bwo ggwe bulikubuulirira, n'okuseeseetuka kwo kulikunenya: kale manya olabe nga kigambo kibi era kya bubalagaze, kubanga olese Mukama Katonda wo, era ng'entiisa yange teri mu ggwe, bw'ayogera Mukama, Mukama ow'eggye.