Jeremiah 2:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Genda oleekaanire mu matu ga Yeruzaalemu, ogambe nti: Omukama kino ky'agamba: “ ‘Nzijukira omukwano gw'omu buvubuka bwo, okwagala kw'obugole bwo, nga bwe wangobereranga mu ddungu, mu nsi omutaasigibwa kantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Genda olangirire nga Yerusaalemi ewulira nti: “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “ ‘Nzijukira okwewaayo kwe weewaayo ng’okyali muto, engeri gye wanjagalamu nga twakafumbiriganwa, wangoberera mu ddungu mu nsi etali nnime.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Genda oyogerere waggulu nga bonna mu Yerusaalemi baawulira nti, Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, Nkujjuukirira ku kwewaayo okw'obuvubuka bwo, okwagala okw'okwogerezebwa kwo; bwe wangoberera mu ddungu mu nsi etaalimu bisigiddwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
‘Nzijukira nga bwe wali omwesigwa mu buto bwo, nga bwe wanjagalanga ng'okyali mugole, nga bwe wangobereranga mu ddungu, mu nsi etesigiddwamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Genda oyogerere waggulu mu matu ga Yerusaalemi nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Nkujjuukirira ku kisa eky'omu buto bwo, okwagala okw'okwogerezebwa kwo; bwe wangoberera mu ddungu mu nsi etaalimu bisige.