Jeremiah 2:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Dda wamenya ekikoligo kyo, wakutula emiguwa gyo; n'ogamba nti: ‘Sijja kuweereza.’ Naye ku buli kasozi akawanvu, na buli wansi wa muti oguggumizza weeyala wansi nga malaaya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama ow’eggye agamba nti, “Isirayiri, ebbanga ddene eriyiseewo bukya weggya mu buyinza bwange, n’ogamba nti, ‘Sijja kukugondera.’ Era ddala, ku buli kasozi era na buli wansi w’omuti oguyimiridde wakuba obwamalaaya ng’ovuunamira bakatonda abalala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kubanga edda ennyo wamenya ekikoligo kyo, n'okutula ebisiba byo, n'oyogera nti, ‘Sijja kuweereza.’ Kubanga wakutama ku buli lusozi oluwanvu ne wansi wa buli muti omubisi nga weefuula omwenzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Okuva edda, mwagaana obuyinza bwange ne munjeemera, ne mugamba nti: ‘Tetujja kukuweereza.’ Mwalekayo okuba abeesigwa, ne musinzizanga balubaale ku buli lusozi oluwanvu, ne wansi wa buli muti.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga obw'edda namenya ekikoligo kyo, ne nkutula ebisiba byo; n'oyogera nti Sijja kuweereza; kubanga wakutama ku buli lusozi oluwamvu ne wansi wa buli muti omubisi nga weefuula omwenzi.