Jeremiah 2:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Newandibadde ng'onaaba n'oluvu, ne weeyamba sabbuuni mungi, ekko ly'ekibi kyo likyandi awo mu maaso,” Omukama Katonda y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ne bw’onaaba n’oluvu n’okozesa ne sabbuuni omungi, naye era ebbala lyo n’obutali butuukirivu bwo bisigala bikyalabika,” bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga newakubadde ng'onaaba n'oluvu n'okozesa ne sabbuuni mungi, naye obutali butuukirivu bwo bulambiddwa mu maaso gange,” bw'ayogera Mukama Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bwe munaabisa oluvu ne ssabbuuni omungi, era nsigala nkyalaba ebbala ly'ekibi kyammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga newakubadde ng'onaaba n'oluvu n'okozesa ne sabbuuni mungi, naye obutali butuukirivu bwo bulambiddwa mu maaso gange, bw'ayogera Mukama Katonda.