Jeremiah 2:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Oyinza otya okugamba nti: ‘Seegwagwawazza, sigobereranga Babaali’? Laba nga bwe weeyisa mu kiwonvu, tegeera kye wakola. Ggwe omwana gw'eŋŋamiya oguwenyuka, ogutabaalira mu bisinde byagwo;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oyinza otya okugamba nti, “Sseeyonoonanga, sigobereranga ba Baali?” Jjukira bwe weeyisa ng’oli mu kiwonvu; tegeera kye wakola. Oli ng’eŋŋamira enkazi efuumuuka embiro ngeraga eno n’eri,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Oyinza otya okwogera nti, ‘Ssoonoonese, ssiigobereranga Babaali?’ Laba ekkubo lyo mu kiwonvu, otegeere bye wakola; oli ŋŋamira ya mbiro eyitaayita mu makubo gaayo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muyinza mutya okugamba nti: ‘Tetwonoonese, tetusinza Babaali?’ Mulabe nga bwe mweyisa mu kiwonvu, mutegeere bye mwakola. Muli ng'eŋŋamiya eraluse, edduka ng'edda eno n'eri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oyinza otya okwogera nti Soonoonese, siigobereranga Babaali? laba ekkubo lyo mu kiwonvu, otegeere bye wakola; oli ŋŋamira ya mbiro ng'eyitaayita mu makubo gaayo;