Jeremiah 2:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
endogoyi ey'ettale emanyidde eddungu, ewejjawejjera empewo ng'erunduzze; ng'esaze ani anaagitambaala? Eziginoonya tezirina kwekooya, zijja kugisanga mu biseera byayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ng’endogoyi ey’omu nsiko eddukira mu ddungu mw’emanyidde, ng’ewunyiriza mu bbanga eno n’eri mu kwaka kwayo, mu kiseera ekyo ani ayinza okugiziyiza? Ensajja zonna ezigyetaaga tezeetaaga kwekooya; mu biseera by’okulabaganiramu za kugifuna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
entulege eyamanyiira amalungu ekonga empewo nga yeegomba; mu kiseera kyayo ani ayinza okugikyusa? Zonna eziginoonya teziryekooya; zinaagirabira mu mwezi gwayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muli ng'entulege eyamanyiira eddungu, ekuba emyasi nga yeegomba okulinnyirwa ennume. Ani ayinza okugiziyiza? Ennume eziginoonya tezeekooya: zisanga esaze, kye kiseera kyayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
entulege eyamanyiira amalungu ekonga empewo nga yeegomba; mu kiseera kyayo ani ayinza okugikyusa? zonna eziginoonya teziryekooya; zinaagirabira mu mwezi gwayo.